Job 21

Yobu Ayanukula

1Awo Yobu n’addamu n’ayogera nti,

2“Muwulirize n’obwegendereza ebigambo byange,
era kino kibazzeemu amaanyi.
3 aMungumiikirizeeko nga njogera,
oluvannyuma museke.

4 b“Okwemulugunya kwange nkw’olekezza muntu?
Lwaki okugumiikiriza tekunzigwako?
5 cMuntunuulire mwewuunye,
mujja kukwata ne ku mumwa.
6Bwe ndowooza ku kino, nfuna entiisa;
omubiri gwange ne gukankana.
7 dLwaki abakozi b’ebibi bawangaala,
ne bakaddiwa ne beeyongera n’amaanyi?
8 eBalaba abaana baabwe bwe banywezebbwa,
ezzadde lyabwe nga balaba.
9 fAmaka gaabwe gaba n’emirembe nga temuli kutya;
omuggo gwa Katonda tegubabeerako.
10 gEnnume zaabwe teziremererwa,
ente zaabwe enkazi zizaala awatali kusowola mwana gwazo.
11Abaana baabwe bagendera wamu nga kisibo;
obuto ne bubeera mu kuzina.
12 hBayimbira ku bitaasa n’ennanga,
ne basanyukira eddoboozi ly’omulere.
13 iEmyaka gyabwe gyonna babeera bulungi,
mangwago ne bakka mu ntaana.
14 jKyokka bagamba Katonda nti, ‘Tulekere emirembe gyaffe!
Tetwegomba kumanya makubo go.
15 kAyinzabyonna ye ani tulyoke tumuweereze?
Kiki kye tuganyulwa bwe tumusaba?’
16Naye obugagga bwabwe tebuli mu mikono gyabwe,
noolwekyo amagezi g’abakozi b’ebibi ganneewunyisa.

17 l“Ettaala y’abakozi b’ebibi yo, ezikira emirundi emeka?
Ennaku ebajjira emirundi emeka?
Katonda abatuusaako obulumi, ng’abasunguwalidde.
18 mBali ng’ebisasiro ebitwaalibwa empewo;
ng’ebisusunku embuyaga bye zitwala.
19 nKatonda abonereza abaana olw’ekibi kya bakitaabwe.
Asasule omuntu yennyini oyo alyoke ategeere!
20 oLeka amaaso ge ye yennyini galabe okuzikirira;
leka anywe ku kiruyi kya Ayinzabyonna.
21 pKubanga aba afaayo ki ku maka g’aba alese,
nga emyezi gye egyamutegekerwa giweddeko?

22 q“Eriyo ayinza okuyigiriza Katonda amagezi,
kubanga asalira omusango n’abo abasinga okuba aba waggulu?
23Omusajja omu afiira w’abeerera ow’amaanyi,
nga munywevu ddala ali mu mirembe gye,
24 romubiri gwe nga guliisiddwa bulungi,
amagumba ge nga gajjudde obusomyo.
25Omusajja omulala n’afa ng’alina obulumi ku mutima,
nga teyafuna kintu kyonna kirungi.
26 sNe beebaka kye kimu mu ttaka,
envunyu ne zibabikka bombi.

27“Mmanyi bulungi ddala kye mulowooza,
enkwe ze mwagala okunsalira.
28 tMugamba nti, ‘Kaakano eruwa ennyumba y’omusajja ow’amaanyi,
eweema abasajja abakozi b’ebibi mwe baabeeranga?’
29Temwebuuzanga ku abo abatambula eŋŋendo?
Temukkiriza bye babagamba,
30 unti omusajja omukozi w’ebibi awona ku lunaku olw’emitawaana,
era awona ku lunaku olw’ekiruyi?
31Ani avumirira ebikolwa bye maaso ku maaso,
ani amusasula ebyo by’akoze?
32Atwalibwa ku ntaana,
era amalaalo ge gakuumibwa.
33 vEttaka eriri mu lusenyi limuwoomera,
abantu bonna bamugoberera,
n’abalala abatamanyiddwa muwendo ne bamukulembera.

34 w“Kaakano musobola mutya okuŋŋumya n’ebitaliimu?
Tewali kisigaddeyo ku bye mwanzizeemu wabula obulimba!”
Copyright information for LugEEEE